Error message

Deprecated function: The each() function is deprecated. This message will be suppressed on further calls in menu_set_active_trail() (line 2405 of /home/bugandal/public_html/includes/menu.inc).

Ekitongole Ky’obwakabaka ki Buganda Land Board olwaleero kikubye olukomera ku mbuga ya Kawuula ku Mujaguzo e Kabowa okukugira abatamanyangamba ababadde besomye okumalawo ettaka lino.Kawuula ye mutaka akuuma engoma Kawulugumo ng’eno Kabaka gy’alamusa buli lw’alabikako eri obuganda. 


 

Olukomera olwateredwa ku ttaka lya Mujaguzo akulitaasa ku banakigwanyizi.........

Buganda Land Board okukola kino kiddiridde police okukwata omuvubuka Robert Lusambya abadde yeefudde ekyonga okutunda ettaka lya Mujaguzo newankubadde nga talirinaako bwa nnanyini.


 

Emabega y'enjumba ŋŋoma za Mujaguzo mweziterekebwa.
Ono abadde yerimbika okubeera omukozi mu kitongole kya Buganda Land Board n’aguza abantu ettaka lya Mujaguzo newankubadde ng’ettaka lino lya nnono era nga teritundibwa.
Bw’abadde akubiriza omulimu gw’okubugiriza embuga, Kawuula aliko Frank Magala Lwembaawo etegeezezza abo bonna ababadde baazimba oba abapangisa ku ttaka lino okulyamuka mbagirawo. Abategeezezza nti ettaka lino lya nnono era abo bokka abalina obuvunaanhyizibwa obwekuusa ku nnono bebalina obuyinza okusigala mu kifo kino.
Embuga ya Kawuula y’emu ku zisinga obukulu Kubanga mwe mubeera enyumba y’engoma Kawulugumo Ensajja emu ku ezo Kabaka z’akuba buli lwaba alabiseeko eri Obuganda mu mukolo ogumanyiddwa nga Okulamusa Mujaguzo.

Ebikwata ku ŋŋoma za Mujaguzo.

MU Buganda mulimu Bakabaka ba mirundi esatu. Waliwo Kabaka atuula ku Nnamulondo, ‘Kabaka’ w’emizimu n’emisambwa ayitibwa Kateebe wamu ne Kabaka atayogera.
Kabaka atayogera z’eng’oma Mujaguzo ezirina Olubiri e Kabowa mu Kyaddondo.
Ekiyitibwa Mujaguzo ziba ng’oma eziwerako ezeegatta okuvaamu obubaka obumu obw’omwanguka. Zikubibwa mu nnaku ne mu ssanyu.

Mu nnaku nga Kabaka alangirira olutabaalo nga Ssekabaka Chwa II bwe yakola mu 1897 ng’agaba olutabaalo lw’e Bukaleeba oba mu ssanyu nga waliwo Omulangira oba Omumbejja azaaliddwa.

Mujaguzo wadde nnyingi naye enkulu ziri bbiri, Kawulugumo ng'eno y’engoma ensajja ne Namanyonyi eyogerwako ng'engoma enkazi oba mukyala wa Mujaguzo Kawulugumo.
E Kabowa Kawulugumo ne Namanyonyi buli emu erina Olubiri lwayo. Kawulugumo ekuumibwa Omutaka Kawuula ow’Olugave ava mu ssiga lya Kasoma Nakatanza era be bagikuba ate Namanyonyi ekuumibwa Omutaka Kimoomera ow'Obutiko wabula era ekubibwa kika kya Lugave.

Ng'omwami n'omukyala bwe batambula bombiriri, ne Mujaguzo zino zitambulira wamu.
Kabaka Kintu bwe yali akola omukolo gw'okumala abalongo be yazaala mu Nambi Nantuttululu, yatuma Ssebuganda Namuguzi ow'Empologoma aleege eng’oma bbiri ezinaakubwa ku mukolo.
Mujaguzo eyitibwa Kanabba.

Zino zaavuga nnyo era buli eyali ku mukolo n'anyumirwa era omukolo olwaggwa Kabaka Kintu n’agamba nti, ‘Zino tezibadde ng’oma wabula mujaguzo’, era erinnya Mujaguzo we lyava.