
Ssenkulu wa Buganda Land Board Omuk.Simon Kabogoza akulembeddemu ttimu ya BLB okugula emijoozi gy'emisinde gy'amazaalibwa ga Kabaka egisoba mu 200 era nga gibakwasiidwa minisita w'obuwangwa n'ennono Owek. Kyewalabye Male.

Owek. Male yeebazizza olw'obuwagizi era n'akubiriza abakozi okukunga abantu abali ku ttaka ly'obwakabaka okwetaba mu misinde gino eginaaberawo nga 3/07/2022.