

Olwaleero nga 18th, January, 2018, abantu ba Ssabasajja okuva mu Ggombolola Ssabagabo Kibibi-Butambala baleese Amakula embuga. Amakula gano bagakwasiza Katikkiro w'ebyalo bya Kabaka Owek. David Lubega Mutunzi.
Nga ayogerako nabo, Owek. Mutunzi akatirizza amakulu agali mu kuleeta Amakula embuga. Agambye, Amakula galeetebwa abantu ba Kabaka okulaba nga embiri zza Kabaka temugwaamu mmere. Ekirala, Amakula lwe lutindo olugata Kabaka ku bantu be butereevu.
Tukuletedde ebifananyi ebiraga nga omukolo nga bwegubadde.